Video není dostupné.
Omlouváme se.

Ekanisa ya Pastor Muyingo e Nansana emenyeddwa aba NEMA ne UPDF

Sdílet
Vložit
  • čas přidán 23. 06. 2024
  • ABANTU abawangalira mu Lubigi e Nansana ne Nabweru balumirizza ekitongole kya NEMA okubefuulira ne kibagobaganya ate na kye kimu ekyabawa olukusa okuberawo.
    Omusumba Bright Muyingo owa God's Healing Tower International Ministries mu Lubigi yewunyizza NEMA okumwefuulira ate nga yamuwa olukusa era nabaako ne ssente zasasuddeyo.
    Muyingo agamba nti yagula ekifo kye mu 2015 ku Fred Kasenge era n'atekawo ekkanisa. Kyokka mu 2018, abantu bataasooka kutegeera baamutuukirira nga bamutegeeza nga bwatalina kweyongera mu maaso kuzimba mu Lutobazi.
    "Twagenda ku munisipaali ye Nansana era abakulu ne batusaba okutekayo empapula mu NEMA naffe kyetwakola era mu March 2020 tuba tukyatambuza empapula Corona najja kimu nekiyimirira." Muyingo bwatyo bweyayongeddeko.
    #churchlubigi #nasana #trendinguganda #pastormuyingo #churchdown #nema #newsnow #news #trendinguganda #mustwatch #africa #ugandannews #newsupdates #updf #lubigi #wetlands #ugandatoday #mustwatch #comment #litoema #subscribe

Komentáře • 2