Nja Kufa n'omusajja Azannyira ku Muwala Wange - Julie Underwood Omuzungu wa Ebonies Ayogedde

Sdílet
Vložit
  • čas přidán 26. 12. 2020
  • Julie Underwood abamu gwe bayita Omuzungu wa Ebonies twamuguddeko ku mukolo ogumu ng'ali n'abaana be. Obwedda agenda yeewaanira ku banne nga bwakuzizza omuwala era mu myaka mitono yeesunga kunywa sukaali.
    Yabadde akyewaana ate abavubuka abaabadde ku mukolo guno ne batandika okunuuka ensingo n'okutuula obufoofofo ndowooza nga banoonya engeri gye batuuka ku muwala bamusuuleyo akagambo ndowooza n'okumuwaana okunyirira.
    Kyokka bano yabalabuukiridde mangu n'abalabula ng'agamba nti muwala we akyali mwana muto nga kati alina emyaka 15 era abanuuka ensingo bamwesonyiwe kubanga ajja kufa n'omuntu.
    Omuwala ono eyamufaanana okumumalayo yabadde n'omulenzi amuddako era bano Underwood yagambye nti be bamu ku baana be yazaala mu Simon Kalema eyali bba nga bakyazannya mu Ebonies.
    Yabadde n'abaana abalala abato be yagambye nti be babba gw'alina kati Farouk Ssempala.
    Yategeezezza nti engeri gye bali ku muggalo olwa corona, obudde bwe obusinga abuwa baana be.
    #JulieUnderwood #Ebonies #Subscribe

Komentáře • 157